Ababaka Lugoloobi ne Kabanda bebamu kubasembye UCDA etwalibwe mu Minisitule yebyobulimi
Olukalala lw’Ababaka ba Palamenti abatadde abawagidde okuyisa ebbago lya National Coffee (Amendment) Bill, 2024 nga lino lyerigenda okuggyawo ekitongole kya UCDA kitwalibwe mu Minisitule yebyobulimi, obuvubi n’obulunzi. Mu bava mu Buganda abataddeko emikono kuliko; Daudi Kabanda, Amos Lugoloobi nabalala. #ffemmwemmweffe
Omubaka Malende ategese olusiisira lw’ebyobulamu
Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Kampala Hon. Shamim Malende asisinkanye Bamaseeka okuva mu Kampala ku muzigiti e Kibuli ku nsonga yolusiisira lwebyobulamu olwobwereere olugenda okubeera e Kibuli ku Muzigiti okuva nga 30 October- 1 November. Essira lyakuteekebwa kukukebera kkookolo wamu nokukebera endwadde zonna. Olukiiko lukubiriziddws Supreme Mufti Muhammad Galabuzi. #ffemmwemmweffe #ShamimMalende
Lwaki temulumirirwa Bannansi, mumanyi emmwaanyi kyetegeeza eri Famire zaffe – Hon. Lutaaya
Omubaka akiikirira Kakuuto County Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Geoffrey Lutaaya avuddeyo olunaku olwaleero natabukira Gavumenti nti emirundi mingi ekubiriza Bannansi okubeera n’omwoyo gw’Eggwanga balumirirwe Ensi yaabwe nti wabula yo mu byekola mpaawo kiraga nti erumirirwa Bannayuganda. Ono atuuse nokubuuza; “Mumanyi emmwaanyi kyetegeeza eri famire zaffe?” Bya David Turyatemba #ffemmwemmweffe
Abagambibwa okutta Eng. Bbosa bakomezeddwawo mu Kkooti
Abantu 6 abavunaanibwa omusango gwokuttemula Eng. Kakeedo Bbosa eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga bakomezeddwawo ki Kkooti ya Mwanga II okumanya wa okunoonyereza wekutuuse ku musango gwabwe. Obutafaananako na naku ndala olwaleero Tabula Luggya abadde mukkakamu nnyo talina kyayogedde ngafuluma bbaasi. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
Naluwenda DPP amuggyeeko emisango
Naluwenda Milly ngono muwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa eyali yakwatibwa ngomu ku bantu abaali mu lukwe lwokutta Egn. Bbosa Kakeedo Luggya agiddwako emisango. State Attorney Lillian Omara yaleese ebbaluwa eyateereddwako DPP omukono nga 23/10/2024. Abalala 5 basimdikiddwa mu Kkooti Enkulu okutandika okuwerennemba nomusango gwobutemu. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
Mugende ekiteeso mukikubeko akalulu – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Among ngayita mu Rule 101 eya Rules of Procedure alagidde bakube akalulu ku alipoota ya Akakiiko aka National Coffee Bill oluvannyuma lw’Ababaka abawerako okuvaayo okuwakanya ekisaliddwawo. Bya David Turyatemba #ffemmwemmweffe
Mukwenda omuggya n’abamyuuka be batuuziddwa
Mukwenda Deo Kagimu n’Abamyuka be, batuuziddwa mu butongole mu bifo byabwe. Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, kulwa Katikkiro yaakoze omukolo ogw’okubatuuza nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru Oweek. Joseph Kawuki. #ffemmwemmweffe
Omuwendo gwabafudde omuliro gwe Kigoogwa baweze 15 – Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti omuwendo gwabo abafudde oluvannyuma lwa loole yamafuta eyagudde okubwatuka omuliro negwokya abantu kati bwegulinnye nga kati baweze 15. The death toll in the Bombo road in Kigogwa-trading centre along Kampala-Bombo road in Kasangati, Wakiso district fuel tanker explosion incident has risen to 15. Abantu 24 […]
Ekyokukiriza emisango tekibasonyiyisa mugende mwebakeyo emyezi 3 – Brig. Gen. Robert Freeman Mugabe
Bannakibiina kya National Unity Platform 16 abavaayo nebakkiriza emisango gyokulya mu Nsi yaabwe olukwe mu Kkooti y’amaggye e Makindye okuli; Olivia Lutaaya, Kakooza Muhydin, Rashid Ssegujja, David Mafabi, Robert Christopher Rugumayo, Abdul Matovu, Mesearch Kiwanuka, Simon Kijjambu, Ibeahim Wandera, Stanely Lwanga, Steven Masaakaru, Ronald Kijjambu, Asubat Nagwere, Matovu Sharif ne Swaibu Katabi boozezza ku munye […]