Mohammed Kateregga agambibwa okwokera mukazi we n’abaana be mu nnyumba e Mbuya alaajanidde mu kkooti e Nakawa ng’asaba bamuyimbule okuva ku limanda mu kkomera e Luzira asobole okubalabirira.
Okulaajana kuno, Kateregga akukoledde mu maaso g’omulamuzi Agnes Alum nategeeza ng’omusango ogw’okugezaako okutta abantu gwe bamuvunaana bwataguzzang’ako.
Wabula omuwaabi wa Gavumenti, Annet Namatovu yawakanyizza okusaba kwa Kateregga nategeeza kkooti nga Suzan Kawala bwali mu mbeera embi e Mulago ng’ono y’agambibwa okwokebwa Kateregga bwe kityo ssinga Kateregga bamuyimbula kijja kugootanya okunoonyereza kwabwe.
Omulamuzi Alum yakiriziganyizza ne Namatovu n’ategeeza nga kkooti bw’ekimanyi nti Kateregga bakyamuteebereza buteebereza okwenyigira mu musango guno era alina eddembe lye okweyimirirwa naye omuntu gwe bamuteebereza okwokya akyali mu mbeera mbi nga tebayinza kutandika kuwulira musango guno kubanga wayinza okuberawo ekikyuka mu fayiro eno omusango ne gufuuka ogw’obutemu.
Yagaanyi okuwulira okweyimirirwa kwe, n’alagira bamuzzeeyo ku limanda e Luzira okutuusa nga February,18,2019.
Kigambibwa nti nga January 7, 2019, Kateregga ng’akozesa amafuta ga Petulooli yakuma ku nyumba ya Suzan Kawala omuliro ng’agezaako okumutta.
Emmauel Tumukunde omu ku booluganda lwa Kawala yagambye nti Kateregga yasalawo okwagala okutta Kawala asobole okwezza ennyumba eno wamu ne poloti yaakwo kubanga baali baludde nga bakaayanira poloti eno era yagezaako n’okugimugobamu kyokka abakulembeze b’e Mbuya ne bamulemesa.