Sofia Nnantongo nga mutuuze w’e Kayanja-Mitijeera e Kitanda mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi akatyabidde Bba mbega wa Poliisi Justice Mpangani wamu n’owa LC Charles Muheerwa nga agamba nti bano bakozesa bubi emmundu.
Mu lukiiko olwabaddemu Omudduumizi wa Poliisi mu greater Masaka okuli RPC Enock Abaine, omwogezi wa Poliisi muttundutunde ly’e Masaka Lameck Kigozi ne RDC Saziri Mayanja n’amumyuka Hanipher Kalaadi.
Wabula Abbatuuze n’abakakiiko okwabadde Augustine Kikomeko ne Steveni Kaliisa bakabuwalidde Nnantongo nga bagamba bakooye enneyisa ye, abaviire ku kitundu.
Bamulumirizza olukaalikaali, okummokkola agagambo, okuwakula entalo, aboogerako kalebule, ng’aliko ne beyatiisizzatiisizza okutega obutwa mu mmere n’ebirala.
Abakulu babawabudde nti tebalina buyinza bugoba muntu ku kyalo wabula bamuvunaana mu kkooti.
RPC Abaine n’omwogezi Kigozi babategeezezza nti CID Mpanani n’owa LC Charles Muheerwa bagenga kubanoonyerezaako ku by’okukozesa obubi emmundu. Nnantongo ne bba CID Mpangani abadde akulira eby’okunoonyereza kubuzzi bw’emisango e Kitanda tebaweereddwa mukisa kwogerera mu lukiiko. Era nga kati Mpangani atemeza mabega wamitayimbwa.