Ba Kaawonawo b’amasasi e Jinja balulojja

Ba kaawonawo b’amasasi omujaasi wa UPDF owo mu nkambi ya Gadhafi Pt. Stephen Micheal Ajuna beyakubyemu amasasi n’ekigendererwa eky’okubatta kyokka ne basimattuka , balulojja .

Ku bana , abasatu basobodde okwogerako n’omusasi waffe Solomon Baleke e Jinja, ku bitanda gyebali nebattottola nga bwebyabadde  .

Wabula ab’enganda z’abantu bano babajje mu ddwaliro ekkulu e Jinja ne babatwala mu bulwaliro obwa obwannannyini lwa basawo ba Gavumenti kukola egyabwe mu ngeri ya gadibe ngalye nga embwa etunda omuzigo .

Ab’amawulire abagenzeeko mu ddwaliro lino okwogerako n’abakulu ku ky’okwemulugunya kw’abalwadde bano nabo tebafunyeeyo kiramu .

 

Leave a Reply