Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awagira ekya ba Kansala okuteeseza mu nnimi ennansi basobole okutegeera obulungi enkola wamu n’empeereza ennungi eri abantu bebakiikirira. Bino abyogedde nga asinziira ku ngeri ba Kansala gyebaatuuyanyeeemu n’olungereza ggyo ly’abalamu nga baluba ebirayiro ky’agamba nti singa tebateesezza mu lulimi nnimi zebategeera kyakuzinngamya empeereza yaabwe.
Katikkiro ayongerako nti okwogera obulungi Oluzungu ssi bwebumanyi wabula kulaba nga abalondedddwa basobola okuweereza abantu obulungi.
Katikkiro okwogera bino abadde mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange Mengo nga Minisita webyensinbi Owek Robert Wagwa Nsibirwa asoma embalirira ya Buganda ey’omwaka 2016 /2017 esoba mu buwumbi 73.
- Olukiiko luno lwetabiddwamu Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Minisita wa Kamp Kampala Betty Kamya, omubaka Kiwanda Ssuubi, Joseph Ssewungu n’abagenyi abalala.