Ba kkansala bavudde mu mbeera lwa musaala, babanja obukadde 115

Ekibinja kya ba kkansala mu Munisipaali y’e Mubende kisitukiddemu ng’ eyatega ogw’ekyayi okugenda mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu okubanja ensimbi zaabwe obukadde 115 mu emitwalo ataano mu mukaaga (56) ezitalabikako. 

Grace Nantubiro akulembeddemu ekibinja kino ategeezezza nti webaviiriddeyo okugenda mu Kampala ku kitebe kya Minisitule, nga abakozi ba Gavumenti mu Munisipaali y’e Mubende balemeddwa okubannyonnyola ekibaviiriddeko obutabasasula nsimbi zaabwe zebabanja zebateekeddwa okufuna mu mateeka.

Nantubiro annyonnyodde nti buli mukiise ateekeddwa okufuna emitwalo abiri mu etaano(250.000) buli lutuula lwa kkanso era kati bamaze omwaka mulamba nga tebakomba wadde ku munwe gw’ennusu nti awamu buli kkansala abanja obukadde busatu (3.000.000) ku ba kkansala 36.

Leave a Reply