Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago nga awerekeddwako ba Meeya ba zi Divizoni ezikola Kampala bakyalidde ku akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon Mathias Mpuuga Nsamba okwogera ku bizibu ebinyiga Bannakampala ne Kampala. Bano balaze obwennyamivu ku ngeri obuyambi bwa #COVID19 gyebukwatiddwamu nga abakulembeze tebabeyambisizza.