Ababaka mu Palamenti bagamba nti batandise okufuna essimu ezibakubirwa abantu nga babatiisatiisa nga bwebayinza okubateekera omuliro oba okubakuba emiggo eginaabaleka mu kkubiro singa kabatanda nebakyusa ennyingo ya Ssemateeka eye 102 akatundu akookubiri nga baggyawo ekkomo ery’emyaka ku mukulembeze w’eggwanga.
Bano nno okutuuka ku bino kiddiridde olukalala lw’amannya gaabwe ssaako n’ennamba z’amasimu olutambulira ku mikutu gy’embikkulirwa kumanya nga lulagira abantu okukubira ababaka baabwe okubatangira okwetantala okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.
Abamu ku babaka abaafunye essimu ezibatiisatiisa mwemuli owa Disitulikiti y’e Budaka, Pamela Kamugo Nasiyo, owa Ntenjeru ey’amambuka Amos Lugoloobi naye agamba nti bamukubira bangi nga bamusaba obuteetantala kuwagira kino.