Babakutte lwakufera baguzi ba zaabu

Ebitongole byebyokwerinda bikutte ekibinja kya Bannayuganda, Abakongo wamu ne Bannansi ba Cameroon nga bano babadde batunda Zzaabu owebiccupuli. Bano babadde bagezaako okufera Munnansi wa China Star Yang nga bamuleeta mu Yuganda nga bamusuubizza okumuguza zaabu. Yanga bweyatuuka mu Yuganda yakwatagana ne James Byaruhanga 40, ono nga amanyiddwa nga Governor nga ono nga yamugamba nti ye nannyini Kkampuni egula Zaabu.

Kigambibwa nti Yang bamulanga emiti gya Zaabu ebiri emituufu ejakeberwa Sayid Musanji era nasabibwa okuwaayo ensimbi Ddoola 83,000 nebamusuubiza okudda ku Monday okukima Zaabu awedde okutegeka. Bano bwebalema okumuleetera Zaabu gwebakiriziganya Yang naddukira mu bamateeka nagulawo omusango nga agamba nti batutte Ddoola 100,000.

Bwebakebedde offiisi zaabwe basanzeeyo ebyambalo bya kkampuni ya G4S, Kilo 100 eza zaabu alabika nga wabiccupuli, minzaanio wamu n’ebyuuma ebikebera zaabu.

Abakwatiddwa kuliko James Byaruhanga 40, omutuuze w’e Kabowa, Patrick Ndenzi 21(Congolese), Boniface Munagabe 34, Frank Ngabirano 33, Ummo Amati 38 ne Mike Lota 43.

Abalala kuliko; Walter Adenyo, Fred Ndayi 16, John Tumukunde 20, Robert Sseguya 30, Bruce Kamugisha 33, Junior Okungi ne Sayid Musanji.

 

Leave a Reply