Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga nga kiyambibwako
bambega b’ekitongole ekiketta mu ggwanga bakutte ebizigo ebigambibwa
okulwaza kkookolo nga bitwalibwa mu maduuka.
Ebizigo ebyakwatiddwa
byabadde bikukusiddwa kuva Congo nga bitwalibwa mu maduuka mu Kikuubo
era okusinziira ku ba UNBS, ebizigo ziri bokisi 2015 nga bibalirirwamu
obukadde 80.
Baabikutte oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga banoonya ababiyingiza mu ggwanga. Byaggyiddwa mu nnyumba emu e Gayaza ku kyalo Gitta-Nabutaka.
Kigambibwa nti, ebizigo bino birimu ekirungo kya Hydroquinone ekirwaza
kkookolo w’olususu. Okusinziira ku nsonda mu UNBS ne ISO, ebizigo bino
kuliko ekika kya Clair Men, Coco Pulp ne Carol light byonna bikolebwa
kkampuni ya Angel Cosmetics e Congo.
Bwebaabadde bakwata ebizigo
bino, baakwatiddeko n’omusajja Peter Otim eyategeezezza nti, ye akuuma
nnyumba wabula ebizigo bya Mikidadi Kwizera n’omusuubuzi w’omu Kikuubo
Rehema Biryomumaisho naagamba nti bokisi 1,500 zaabadde zaatwaliddwa dda
mu maduuka mu Kikuubo.
Abeebyokwerinda baategeezezza nti, ebizigo
bino biva Congo nebabayisa ku nsalo e Kanungu ne Kasese nebabiyingiza mu
ggwanga nebabiguza Bannayuganda. E Kanungu ne Kasese bituukira ku Ivan
Muhairwe akola nga kayungirizi.
Bwebiva e Kasese ne Kanungu
babituusiza Gayaza gyebalina sitoowa olwo nebiryoka bitambuzibwa mu
maduuka mu Kampala n’eggwanga lyonna.
Hydroquinone kyekimu ku
birungo ebikozesebwa mu kweyerusa kyokka Abangereza baakizuula nti,
singa kiyitirira obungi, kiba kigenda kulwaza omuntu akikozesa kkookolo
w’olususu.
“Ebisigo bino twabikebera dda mu byuma byaffe ng’ekirungo
kya Hydroquinone kingi nnyo naye nga tetumanyi babireeta mu ggwanga
kubayimiriza.” Omukungu wa UNBS eyabadde mu kikwekweto bweyategeezezza.