babiri bafiiridde mu kabenje e kyonyo

Abantu 2 bafiiriddewo mu kabenje akagudde e Kyonyo ku luguudo oluva e Kabale okudda e Katuna enkya yaleero. Kigambibwa nti akabenje kano kaguddewo ku ssaawa nga kkumi ez’okumakya Bbaasi ya Kkampuni ya Trinity nnamba UAX 486X eyabadde edda e Rwanda bweyatomereganye ne Trailer nnamba BUD 720A.

Aggrey Muhwezi omutuuze w’e Kyonyo agamba nti akabenje kavudde ku nsubi eyakoleddwa omuvuzi wa Trailer eyavudde ku mukono ggwe kwalina okuvugira natandika okuvugira ku Ddyo. Trailer yabadde edda Kenya nga eva Burundi gyebavugira ku Ddyo.

Abafudde kuliko Micheal Mwaka 49, Ddereeva wa Bbaasi ne Anthony Kalekwa Ddereeva wa Trailer nga mutuuze w’e Ishongorero mu Ibanda District.

Abalumiziddwa kuliko Janvir Nkeshimana, Timothy Wagoba 30, Musa Masereko, 63, Agnes Kamuliza 38, Eshide Shibumana 20, Rehema Nabagereka 22, Gaddafi Mutabazi 22, Consulanta Hacuritimana 40, Jamil Kisubi 26, Yorande Ntakakutimana 20, neyategerekeseeko erya Jojo era nga bano badusiddwa mu ddwaliro lya Kabale Regional Referral Hospital okufuna obujanjabi.

Gavumenti Ya Rwanda yaweerezza Ambulance bbiri ku ddwaliro okukima abantu abalumiziddwa ennyo.

Leave a Reply