Babiri balumiziddwa mu kabenje ku luguudo lw’e Ssemuto

Abantu 2 balumiziddwa byansusso nga bamenyese amagulu n’okufuna ebiwundu ebyamaanyi ku mitwe mu kabenje akagudde Ku Ssemuto Road mu Wakiso Disitulikiti.
Ababbiri bano babadde Ku piki piki nga bava Kavule nga badda Matugga. Abeerabiddeko nagaabwe bategeezezza nti akabenje kano kavudde Ku Motoka Premio No.UAM 514S ebadde eva e Ssanga nga edda Kavule okwabika omupiira neremerera omugoba waayo neyingirira ababadde ku piki piki ne Motoka endala Canter No.UAZ 658E nga nayo abadde eva Kavule nga edda Matugga.
Ababadde Ku piki piki baddusiddwa mu Ddwaliro e Mulago wabula nga okuwona emagombe bajja kusimbayo kitooke.

Leave a Reply