Omugagga Mansur Matovu amanyidwa nga Yanga atabuse ne babbulooka abatunda ettaka n’amayumba ne bamutwala mu kkooti nga baagala bamuyimirize okugenda mu maaso n’okukulaakulanya ettaka erisangibwa ku poloti 2 ku luguudo lw’e Namirembe awaali essundirio lya Total nga bagamba nti bamubanja ddoola 82,500 (305,250,000/-) Bakkaanya okubawa ddoola 1,500,000 okugula ekifo kino kyokka n’abawaako ddoola 1,427,500 nga kati bamubanja ddoola 82, 500, okusinziira ku Yanga.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Crane Associated Advocates baasabye kkooti eyimirize Yanga ne kkampuni ya DL Property Limited okugenda mu maaso n’okukolera ku ttaka lino okutuusa nga babasasudde ssente ze bakkaanya.
Yanga yagambye nti ettaka yaliggula ddoola 7,000,000 nga nabo yalina okubasasula ddoola 1,500,000 kyokka nga kulina okubaako ssente z’omusolo gw’okugula n’okukola ku mpapula okulaba ng’ebiwandiiko byonna babizza mu mannya ge.
N’agamba nti ssente babbulooka ze babanja ze zaalina okukola ku misoso gino gyonna. N’agamba nti bwe yazuula nga bayinza obutasasula musolo yasalawo okusigaza ssente zino asobole okusasula omusolo n’ebiwandiiko kyonna nga wano we waavudde olutalo ne batuuka n’okumutwala mu kkooti.
Yagambye nti tajja kubawa wadde ennusu okuva bw’atalina kyababanja kubanga ssente ze babanja zirina kugenda mu Gavumenti era gy’agenda okuzitwala. Yabasabye basse omukono ku kiwandiiko ekimusobozesa okusasula ssente zino okusinga okugenda mu kkooti ne bamuwawaabira.
N’agamba nti tayinza kukola nsobi kubawa ssente kubanga bwe wabaawo ekitatambudde bulungi yajja okufiirwa ssente ennyingi nga bo tebalina kye bajja kufiirwa nga babbulooka