Akakiiko akalondoola emirimu mu Bitongole bya Gavumenti kayisiza ebiragiro ebiwaliriza omukyala Justine Bagyenda okulabikako gyakali ku lw’okubiri wiiki ejja. Ono ye yali avunaanyizibwa ku kulondoola Bbanka endala wabula nga olunaku lwaleero talabiseeko nga bwekibadde kisuubirwa.
Kigambibwa nti ono yabadde alina okuleeta alipoota ezakolebwanga ku bbanka ezaggalwa wabula nga zino zabuzibwawo okuva mu bbanka enkulu
Akakiiko kagamba kikabuuseeko enkya yaleero Bagyenda bwaweerezza ebbaluwa nti taliiwo agenze bweru wa ggwanga nga alina emirimu gyeyali alina okubeerako nga tanayitibwa kakiiko kano.
Ye Ssenkulu wa Bbanka enkulu Emmanuel Mutebile yegaanye eby’okutambula kwa Bagyenda kuba naye ebbaluwa agifunye nkya yaleero.
Ye Ssentebe w’Akakiiko kano Abdu Katuntu agamba nti ebbaluwa ya Bagyenda tematiza kuba tennyonyola wa gyalaze na ddi lwakomawo.