Bannamateeka ba MMAKS emu ku kkampuni ezaawolereza Bbanka Enkulu ne basasulwa obuwumbi bw’ensimbi balabiseeko mu kakiiko ka COSASE akabuuliriza ku bbanka ezaggalwa ne babuuzibwa ku ngeri gye bakolamu.
Kkampuni ya MMAKS eddukanyizibwa bannamateeka okuli; Timothy Masembe Kanyerezi, Apollo Makubuya, Moses Adriko, Mathias Sekatawa, Ernest Kaggwa, Isaac Walukagga, Fiona Magona ne Stephen Zimula.
Waliwo akatambi akaakwatibwa kkamera za Bbanka Enkulu ku lunaku lwa Ssande ne kalaga munnamateeka Kanyerezi ng’ayingira ofiisi ya Justine Bagyenda eyali akulira okulondoola emirimu gya bbanka.
Ensawo ya Masembe mu kuyingira yali ewewuka naye mu kufuluma yalabika ng’ezitoye.
Ku nsonga eno Bagyenda yategeeza nti mu kiseera ekyo wadde yali mu luwummula ku Ssande lwe yali afunye obudde obulaba Masembe era nga yali takiwulirangako nti tebakkirizibwa kusisinkana bagenyi ku lunaku lutali lwa kukola.
Ekimu ku kyewuunyisizza ababaka kwe kubeera nga Bbanka Enkulu terina bbaluwa kwe baaweera MMAKS Advocates mulimu gwa kubawolereza bwe baali baloopeddwa Crane Bank.
Bagyenda yategeeza nti ebbaluwa yagireka mu kibaasa ekiriko nnamba 11, kyokka Twinemanzi Tumubweine eyamuddira mu bigere n’ategeeza nti ebbaluwa gy’ayogerako teriiyo kubanga baaginoonya n’ebabula.
Aba MMAKS obutabeera na biwandiiko ku nzikiriziganya gye baakola ne Bbanka Enkulu baagambye nti guno ssi mulimu gwabwe okukuuma ebiwandiiko.
Baasabye babuuze aba Bbanka Enkulu kuba be baawandiikanga buli ekyateesebwanga.
Baategeezezza nti buli kye baakola kyali mu mateeka Ekirala ebbaluwa ewa MMAKS ebiragiro bye balina okutambulirako nga bawoza omusango be baabyekolera.
Banka Enkulu yasasula kampuni ya MMAKS ddoola za America 251,000 (eza Uganda obukadde 914) olw’okubawolereza mu musango gwa Crane Bank.
Justine Kasule, akulira ebyamateeka mu Bbanka Enkulu, agamba nti ebbaluwa ewa MMAKS omulimu gw’okubawolereza yagirabako nga bamaze okukola ebitundu 70 ku 100 ku mulimu ogwali gubasuubirwamu.
Ababaka era beebuuza eyasemba MMAKS okugiwa omulimu wadde kampuni balina nnyingi abasobola okukikola. Gavana Tumusiime Mutebile agamba nti, Bagyenda ye yamuwabula awe MMAKS omulimu.
Lipooti eyafulumizibwa omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga mu 2016 eraga nti ng’oggyeeko obukadde 914, waliwo n’endagaano gye baakola ne Bbanka Enkulu bokka ne basasulwa obuwumbi bubiri n’obukadde 800.