Bakifeesi 51 ababadde babonyabonya Kampala n’emiriraano basindikiddwa ku meere e Luzira. Bano basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road nebegaana emisango gy’okusangibwa n’ebiragalalagala.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu yasindise Fred Komakech, 24,Emmanuel Jenje,20, Godfrey,26, Andrew Ogwang, 20, Bosco Okila,52, Jabel Yiga,43 ne Murushio Settuba, 30 okutuuka nga 20 July baddemu okubasomera emisango. Ebiwandiiko biraga nti bano bakwatiddwa mu bitundu bya Kampala n’emiriraano omuli; Katwe, Kasangati, Old Kampala, Jinja road, Mukono, Nagalama, Kira, Kakiri, Nansana, Nsangi, Entebbe, Kajjansi,Kabalagala,Wandegeya, CPS Kampala, Kawempe ne Wakiso.
Okusinziira ku ku poliisi bano bakwatibwa mu kikwekweto ky’okunoonya bakifeesi era nga bakwatibwa n’ensawo, amajambiya, obwambe, spare w’emotoka n’ebintu ebirala bingi. Kigambibwa nti bano babadde bakuba abantu obutayimbwa.
Abalala kwabaddeko Joseph Ssegawa,34, Hamis Bogere,30, David Cikuru,23, Jimmy Magomu,40, Jonah Tumukunde,18, Isma Kavumano,23, Augustine Kakaire,18, Milo Mubiru,25, Alex Wasikula,22, John Osilo and Rasul Maniro Robert Mujumbura,35, Mosa Kihembo,24, Fred Tumwesigye,20, Nazareth Kamutume, 38, Patrick Mukwayo, 25, Ambrose Ocho,19, Eddie Kasozi,20, Reagan Tuhaise,20, Abdallah Aziz Musitina,28, Salim Kasekende,23, Micheal Asiimwe,21, Robert Tebandeke,37, Byan Turyahikayo,23, Abdu Ssekanjako,25, Ramathan Kakayi,22, Brian Gift,19, Michael Mao,28, Ronald Trust Ssemanda,29, Akim Tabuga23, Charles Jawiambe,21, Junior Mayanja,22, Alfred Tekako,28, Francis Ojok,19, Ivan Sande,22, Paul Mutabazi,22, Kamono Omona, 56,James Kagabo, 26,Moses Lubega,30, Jamal Adiga,33, Juuko Obedi,20, ne Emmanuel Senyange,32.