Bakkansala ba KCCA abakwatibwa bonna bayimbuddwa

Bakkansala ku Lukiiko lwa Kampala Capital City Authority – KCCA abaakwatibwa gyebuvuddeko nga bekalakaasa olwokugoba abatembeeyi ku nguudo baweze nga bwebatagenda kuva ku mulamwa gw’okulwanirira Bannakampala naddala ku mateeka agaleetebwa Gavumenti nga gabanyigiriza omuli abatembeeyi n’aba booda booda. Bano baali baakwatibwa olw’okukuma omuliro mu bantu.
Olwaleero bonna ababadde baasigala mu kkomera e Kitalya nabo bayimbuddwa ku kakalu ka nsimbi emitwalo 50 ez’obuliwo wamu n’obukadde 2 obutali bwabuliwo kwabo ababeeyimiridde.
Leave a Reply