BAKUBYE ABATEEBEREZEBWA OKUBA ABABBI B’EMBUZI N’ENKOKO OMU NEBAMWOKYA

Abatuuze ku kyalo Butende mu Disitulikiti y’e Bugweri bakkakanye ku bantu abateeberezebwa okuba ababbi b’embuzi wamu n’enkoko nebabaligita emigobante omu nebamumiza omukka omusu.
Omulambo gw’omusajja ono wamu ne Piki piki kwebabadde batambuliza embuzi n’enkoko 6 babiteekedde omuliro. Ye munne bwebabadde yemuludde nadduka neyesolossa mu ssamba y’ebikajjo.
Leave a Reply