Bakutte abakozi ba Disitulikiti y’e Kabarole ne Fort Portal lwakutunda ttaka lya Gavumenti

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte abakozi b’Akakiiko k’ettaka okuva mu Disitulikiti y’e Fort Portal wamu ne Kabarole olwebigambibwa nti bekobaana okutunda ettaka lya Gavumenti eriri ku Millane Access ku nkigizi z’omugga Mpanga eri omusuubuzi omu.
Kigambibwa nti bano bakiriza okusaba kwe nga tebasoose kulambula kifo nga bano kuliko; Chairperson Area Land Committee – Baguma David, Senior Physical Planner – Musana Samuel, District Staff Surveyor – Kugonza Simon, Senior Staff Surveyor Kabarole Ministry Zonal Office – Nansubuga Sumini ne Secretary District Land Board Kabarole – Bwango Jessy.
Mu ngeri yeemu era abantu abalala 2 bakwatiddwa nga kuliko; Principle Education Officer Richard Alituha ne Fmr head Finance, Kirungi Annet kubigambibwa nti babulankanya obukadde 180 eza Capitation Grant nga zaali zamasomero wamu n’amatendekero mu kibuga Fort Portal mu mwaka gwebyensimbi 2021/22. Abantu 2 bakyanoonyezebwa ku nsonga eno yeemu.
Leave a Reply