Abakungu abalondoola ebyobulamu muggwanga nga bakolera wansi w’amaka
g’omukulembeze w’eggwanga kati bakakwata abasawo 13 mubbanga lya
sabbIiti namba nga bakola okunoonyereza kuddwaliro ekulu e Jinja.
Abakungu bano nga bakulirwa Dr Jackson Ojera bagamba abasawo kuddwaliro
lino babade basusizza engalo empavu nga kumpi babba buli kimu.
Bino
abyogedde mululiiko lw’abantu babulijjo lwayise ku kitebe kya
Disitulikiti nga ayanja alipoota kubyebakazuula era nabatuuze nabo
baweereddwa omukisa okubuulira abakakiiko engeri abasawo gyebeyisaamu.