Abebyokwerinda mu Kisenyi Bus Terminal bakutte omusaabaze abadde n’emmumdu ekika kya sub-machine gun (SMG) n’amasasi 24, magazine endala 2 ezijjudde amasasi, ejjambiya 3 wamu ne liita 1 eyamafuta ga petulooli nemiguwa.
Akwatiddwa ye David Tumwine aka Busoni, ngabadde ava Kyotera ngayolekera mu Disitulikiti y’e Busia.
Ono akujmirwa ku Poliisi ya Old Kampala gyatwaliddwa annyonyole gyabadde atwala emmundu nekigendererwa.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe