Wabaddewo katemba mu nkambi ya Police e Iganga ng’abakyala b’abaserikale bagwa ekiyiifuyiifu ku bakozi ba UMEME okuva e Iganga nebabakuba nga babatangira okubateeramu bu mmita bwa Yaka mu nnyumba zaabwe.
Abakazi bano bavumbagidde abakozi ba UMEME nebabalindiggula eri era nebabakkakkanako nebakuba nga mwotwalidde n’okwonoona bu mmita bwebabadde baleese okukozesa . Abakyala bano bagamba nti tebasoose kusomesebwa ku nkozesa ya Yaka so nga ate ne ba bbaabwe beeyaguza luggyo.