Ekibinja kino ekikola effujjo kyambala ebimyufu ekitegeeza nti betegefu okuyiwa omusaayi, ate nga ebiseera ebimu babadde bambala enkofiira za millitary okulaga nti bakozesa enkola za millitary, naye okutiisatiisa kuno tukwesonyiye ebbanga lyonna.
Wabula tetujja kubakiriza kutiisatiisa Bannayuganda nga bakozesa ebigambo oba okubakuba nga bakozesa amayinja, ebiso, obwambwe oba emmundu. Okusobya ku bakazi olw’okuba bawagira NRM oba okusobya ku mukazi yenna, mu Kkooti z’amateeka bakusalira gwakufa.
Okwonoona ebintu by’abantu tekijja kukirizibwa, okulemesa Bannayuganda okutuukiriza eddembe lyabwe ery’okulonda nga basomba abalonzi okuva mu bitundu ebirala kuba kulya munsi lukwe kuba kiremesa abantu b’omukitundu okukozesa eddembe lyabwe.
Bino bwemuba temubiraba nga bizibu, awo mubeera basosoze era bannakyemalira abatagambika. Ebitongole byebyokwerinda byataasa abantu obutafa mu bungi nga bagumbululu abakozi b’effujjo abatalina mulamwa nga bakozesa amasasi olw’okuba nti tebalina teargas.