Omumyuuka wa Ssaabaminisita owookusatu Rukia Nakadama, yetonze ku lwa Baminisita okutuukanga ekikeerezi mu ntuula za Palamenti nategeeza nti bano balina emirimu mingi egyokukola wabula nasuubiza nti bagenda kufuba okulanga nti bakyuusaamu.
Wabula ono yanenyezza Sipiika okusazaamu olutuula amangu nga agamba nti yandirinzeeko kuba ye yatuuse mu ddakiika 2 zokka Sipiika nasazzaamu olutuula. Ono agamba nti Baminisita babajjukiza ku kyokutuuka amangu nti naye balina emirimu mingi gyebakola.