Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga Bammemba bwa Election Management Committee y’ekibiina 4 okuli; Mercy Walukamba, Rovans Alex Lwanyaga, Rahma Juma ne Kayabula Eddie bwebabuziddwawo olunaku lw’eggulo.
Kyagulanyi agamba nti bano bawambiddwa ku mudumu gw’emmundu mu bitundu by’e Lungala mu Disitulikiti y’e MPigi bwebabadde bava okuziika e Rakai.
Ono era avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nti bano bakuumirwa Mbuya.