Bamusobezzaako kirindi nebamutta – Mityana

Police y'e Mityana eri ku muyiggo gwa bantu abatannategeerekeka nga bano baliko omukazi atemera mu gy'obukulu 25 – 28 gwebaasobezzaako ekirindi  nebamutta n'omulambo gwe nebagusuula ku kkubo. 

Omulambo gw'omukyala ono gusangiddwa ku mabbali g'ekkubo ku kyalo Makajjo ekisangibwa mu kabuga k'e Ssekanyonyi mu Disitulikiti y'e Mityana. 

Okusinziira ku Mwogezi wa Police mu bitundu bya Wamala, Nobert Ochom akakasizza obutemu buno wabula n'ategeeza nga Police bw'ettannabaako gw'ekwata kugiyambako mu kunoonyereza naye nga gwo omulambo Police yagututte mu ggwanika ly'e ddwaliro ly'e Mityana nga bwebalinda Abooluganda. 

Leave a Reply