Abeeyita bannyini ttaka Gavumenti gye yagala okusengulira abantu
abakosebwa okuyigulukuka kw’ettaka e Bududa mu Gombolola y’e Bunambutye
mu Disitulikiti y’e Balambuli bakombye kwerima nga bagamba nti
ssibaakukkiriza muntu yenna ku ttaka lino okuggyako nga bamaze
okusasulwa.
Bano beekalakaasizza nga bakutte emiggo okulaga obutali
bumativu bwabwe eri offiisi ya Ssaabaminisita nga bagamba nti
ebatiisatiisa n’amaggye.
Bano bagamba nti betegefu okufaafagana n’omuntu yenna enagenda ku ttaka lyabwe.