Banjudde ekibiina kyebyobufuzi ekiggya ekimanyiddwa nga PPF

Waliwo abantu abavuddeyo nebategeeza nti baali ba People Power Movement wabula nga kati beyubudde nebawandiisa ekibiina kya People Power Front (PPF), olunaku lweggulo bayanjudde ekibiina kino mu butongole eri Bannayuganda wabula nga ebimu ku byebakozesa ng’omubala, akabonero wamu n’obukofiira obumyuufu bwefaananyiriza ekibiina ku ludda oluvuganya ekisinga ensangi zino ekya National Unity Platform (NUP).
Abakulembeze b’ekibiina kuliko; Hajji Musa Misango, agamba nti ye Ssentebe wa PPF, Ssaabawandiisi Spartan Mukagyi, ne Ssentebe wamasekkati Robert Rutaro, nebategeeza nti bakiwandiisa mu August 2024.
Leave a Reply