Banna Buddu ne Kyaggwe bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe.

Amagombolola okuva mu Ssaza lye Buddu ne Kyaggwe, galeese oluwalo okuwagira emirimu gy’obwakabaka. Agaleese gegano;

Buddu

Mutuba VIII Kasaali 1.350.000

Mutuba VII Lwengo 2,125,000
Mutuba V Kakuuto 1,600,000
Mutuba IX Kabira 1,560,000
Mutuba XVII Nabigasa 550,000

Kyaggwe

Musaale Nagojje 1,250,000

Buikwe District Disability Co-operative and Credit savings Union. 500,000/

Omugatte: 8,911,000
Bwabadde abatikkula, Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era w’eby’ensimbi, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, abasabye bettanire okulima ebirime eby’ettunzi, omuli, emmwanyi, kasooli, n’ebirala nga beeyambisa omukisa gw’enkuba etonnya ensangi zino. Omuwanika, avumiridde ettemu erisusse mu ggwanga naasaba abantu bafeeyo nnyo kubyokwerinda kwabwe.
Mu ngeri eyenjawulo, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, yeebazizza abantu abaliko obulemu olw’obujjumbize ku nsonga z’obwakabaka, era asinzidde wano naabadduukirira n’obugaali bubayambeko mu kutambula. Agambye nti bino byebimu ku bibala ebyava mu mukago Obwakabaka gwebwatta ne Rotary.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Owek, Joseph Kawuki asabye abalimi balime ebirime binaasangwa okusobola okufuna emiganyulo egiwera.

Omukolo gwetabiddwako, Minisita w’ettaka, obulimi n’obutonde bwensi, abaami b’amasaza, abakulu b’ebitongole, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, ne bannabyabufuzi.

Leave a Reply