Bannabitone bakiise embuga nebawaayo ettoffaali

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ntikkudde #LuwaloLwaffe okuva mu Magombolola g’e Kooki ne Busujju, e Ssaza lya North West Pacific mu America, ssaako ne bannakatemba.
Obukadde obusoba mu 113 bwebuleeteddwa.” Mu ngeri yeemu Bannabitone nga bakulembeddwamu Omumbejja Mariam Ndagire, bakiise embuga nebaleeta oluwalo lwa bukadde butaano (5m).
Era baleese n’endokwa z’emiti ewa Katikkiro Mayiga mu kaweefube w’okukuuma obutondebwensi.
Leave a Reply