Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Yuganda, His Grace Stanely Ntagali agamba nti tagenda kutiitiira olw'okutiisibwatiibwa bannabyabufuzi nti ye waakugenda mu maaso n'okubunyisa engiri ya Katonda nga bwekyetaagisa.
Ntagali ayongerako nti beetaga n'okusabira Bannabyabufuzi okwenenya awamu n'okutya Katonda ate n'okumussa ku mwanjo nga bakola emirimu gyabwe.
" Baagala tubuulire byebaagala okuwulira, naye njagala okutegeeza ababuulizi b'enjiri mwenna nti tubuulire enjiri etaliimu kwekkiriranya era tusabire ne Bannabyabufuzi beenenye, batye Katonda, baweereze Bannayuganda mu bwerufu". Ssaabalabirizi Stanley Ntagali.