Kkooti y’Eggye lya UPDF etuula e Makindye n’olunaku olwaleero egaanye okukkiriza Bannakibiina kya National Unity Platform 31 okweyimirirwa. Bano baakwatibwa mu kunoonya akalulu e Kalangala era Kkooti eragidde baddizibweyo ku alimanda okutuusa nga 3-April.
Okusinziira ku Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya agamba nti tebagenda kussa mukono okutuusa ng’abantu baabwe bano bayimbuddwa okuva mu makomera nebaggwayo nebafuna n’obwenkanya.