Bannakibiina kya NUP 34 basimbiddwa mu Kkooti e Kanyanya

Bannakibiina kya National Unity Platform 34 okuli n’Ababaka Derrick Nyeko ne Muwada Nkunyingi, olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Kanyanya William Muwonge nebavunaanibwa emisango okuli; ‘common nuisance’ ne ‘malicious damage to property’.
Abavunaaniddwa emisango bajegaanye, bano bakwatibwa ku bbalaza abebyokwerinda bwebakwata abawagizi bakwatidde NUP bendera mu kalulu ka Kawempe North Elias Luyimbaazi Nalukoola.
Leave a Reply