Omulamuzi wa Kkooti etuula e Mengo akirizza okusaba ka Munnakibiina kya National Unity Platform Kavuma Jamushid ne banne abalala 3 okwokweyimirirwa. Bano bakwatibwa nga 5-November wabula oluvannyuma lwenaku 32 nga tebamanyiddwa gyebali basuulibwa ku Poliisi ya Old Kampala era nebaggulwako omusango gwokwasa endabirwamu y’emotoka ekika kya drone.