Bannakibiina kya NUP babuziddwawo e Mpigi

Abakwatidde National Unity Platform – NUP bendera mu Mawokota South mu Disitulikiti y’e Mpigi bebagambibwa okuba nga babuziddwawo abantu abalowoozebwa okubeera abebyokwerinda. Abdul Rashid Nkinga aka Jjaja Katikannyonyi eyesimbyeewo ku kifo kya Ssentebe wa Buwama Town Council ne Ronald Ssekajja nga yesimbyeewo ku kifo kya Ssentebe wa Buwama Rural Sub-County bebabuzibwawo ku lwokusatu lwa wiiki eno. Abalala kuliko; Ronald Mugerwa, omusuubuzi owamaanayi era nannyini Jazz African Motel e Buwama, Ddereeva wa Joan Nakintu eyagala ekifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mpigi Baker Kawooya, Victor Makenya omutuuze w’e Jalamba ne Godfrey Kisembo Buyaaya, nannyini Buyaaya Glass Mart e Buwama. Okusinziira ku Dr Joel Mirembe, NUP registrar mu Mawokota South, agamba nti Nkinga ne Mugerwa bakwatiddwa abasajja ababadde mu ngoye ezabulijjo nga babagalidde emigerawala nga babadanze mu Equator Gardens-Nabusanke ku ssaawa mwenda ezolweggulo nga a abakutte babadde batambulira mu drone. Abalala agamba bagiddwa mu maka gaabwe mu ttumbi.
Leave a Reply