Ba Namateeka ba Col. Dr. Kizza Besigye baddukidde mu kooti e Kasangati w’akiri yo ewe ekiragiro eri Police okuva mu maka ga Besigye . Daudi Mpanga ne Yusuf Nsibambi bagamba nti omuntu waabwe alina okikkirizibwa era alina eddembe eriva ewuwe okugenda okukola emirimu gye nga bamulemesezza n’okufuna obudde obukunganya obujulizi ku ngeri gyeyabbibwamu akalulu akaakaggwa.
Police yasalako amaka ga Besigye oluvannyuma lw’akalulu k’obwa Pulezidenti akaaliyo mu gwokubiri.
Police egamba nti Besigye alina ebigendererwa by’okutabangula Kampala ng’akunga abantu okutambula naye .
Olunaku lweggulo Besigye yakkiriziddwa okugendako mu ssinzizo ku All Saints Cathedral e Nakasero wabula oluvannyuma lw’okusaba ate n’adddamu okukwatibwa era n’atwalibwa ku Police ya Kira road .