Bannamateeka ba Besigye bagaaniddwa okuyingira Kkooti

Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne munne bwebavunaanibwa Hajji Obed Lutale Kamulegeya nga batuusibwa ku Kkooti y’amaggye e Makindye enkya yaleero. Bano baaniriziddwa wakati mu mizira abawagizi baabwe.

Ekibinja kya Bannamateeka abesowoddeyo okuwolereza Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya abakunukiriza 50 okuva mu Uganda ne Kenya bagaaniddwa okuyingira Kkooti y’amaggye e Makindye.
Muzeeyi Kiwanuka John Chrisestom 82, yesowoddeyo okubeera omu ku bantu abagenda okweyimirira Besigye era ye akiriziddwa okuyingira Kkooti.
#ffemmwemmweffe
Leave a Reply