Bannamateeka ba Besigye bakedde ku ULS ku nsonga za Karua

Ekibinja kya Bannamateeka abawolereza Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nga bakulembeddwa Loodi Mmeeya Erias Lukwago enkya yaleero bakedde ku kitebe kya Uganda Law Council okulondoola okusaba kwa Munnamateeka Martha Karua okuweebwa satifikeeti eyekiseera. Karua, ye munnamateeka omuggya agenda okukulembera ekibinja kya Bannamateeka 50 abavuddeyo okuwulereza Besigye mu Kkooti y’amaggye.
Leave a Reply