Bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye beecwacwanye olw’abakulira ekkomera lye Luzira okugaana okuleeta omuntu waabwe mu kooti olwaleero ate n’ekyokusaba kwa Gavumenti omusango gwa Besigye gukyusibwe okuzzibwa mu kooti ento e Luzira .
Besigye abadde asuubirwa okulabikako leero mu maaso g’omulamuzi wa ento Nakawa James Eremye naye omuwaabi wa Gavumenti Lino Anguzu n’ategeeza kooti nti beekengedde obyokwerinda Besigye kyavudde taleetebwa .
Ayongeddeko (Omuwaabi wa Gavumenti) nti Besigye yakyusibwa okuggyibwa e Moroto nga beeraliikirira ku by ‘okwerinda bye nga kyekimu neekibaddewo olwaleero . Asabye kooti Besigye akomezeebweo olunaku olulala lwonna oba omusango guwulirizibwe mu kooti ento e Luzira .
Bw’atyo omulamuzi Eremye akkiriziganyizizza n’ekyoludda oluwaabi era n’alagira akomezebwewo(Besigye) nga 15 . 06 . 2016 . asalewo ku ky’okuwuliririza omusango e Nakawa oba e Luzira .
Wabula kino kiggye abawagizi ba FDC n’abantu abalala ababadde bagumbye mu kooti okukuba olube wamu n’okungoola omulamuzi nga kw’otadde n’okumuyita Kifeesi . Okuleekana kuno kulemesezza okuwulira emisango emirala mu kooti eno ekiwalirizza omulamuzi ono okwamuka kooti eno .