Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza bannamawulire okubeera abayiiya ennyo mu bintu ebyenjawulo so sikwemalira mu konoonyereza na kuvumbula byokka kubanga eriyo ekiseera nga bannyuse amawulire.
Bino bannamawulire abibafuuyidde ku kabaga ka Ssekukkulu akayindidde ku Moonlight Gardens e Nsambya mu Kampala. Mayiga agamba nti wadde nga omulimu gwa bannamawulire mukulu nnyo mu kuzimba eggwanga lino, naye balina okwetaba mu bintu ebirala ebireeta enkulaakulama eri eggwanga lino ate n’eri bo bennyini ssekinnoomu