Ekibinja ekisooka ekya Bannayuganda 12 ababadde basiraanira mu UAE nga bakuumirwa mu ‘Detention Centers’ emyezi egiwera kyatuuse mu Yuganda era nebakyazibwa mu maka gakulembera ekibiina kya National Unity Platform Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine e Magere olwo nebanyumya byebayiseemu ebiyunguza amaziga.
Bangi ku bano bagamba nti badduka gyebaali bakolera lwakutulugunyizibwa nebafundikira nga bayooreddwa nebatwalibwa mu ‘Detention Centers’.
Ono yategeezezza nti omukisa gwasoose kuweebwa abo abalwadde wamu nabo abalina ebizibu ebyetaaga okugonjoolwa mu bwangu
Yasiimye abo abakoze kyonna kyebasobola okulaba nti bayamba Bannayuganda okukomawo era nategeeza nti mu naku eziddako Bannayuganda abalala bakomawo era ajakuba ategeeza eggwanga.
Yayongeddeko nti guno mulanga ogutakungula eri eggwanga lyonna bwatyo nasaba Bannabyabufuzi, ebibiina byebyobufuzi, enzikiriza, abasuubuzi ne Bannayuganda bonna abesobola okuduukirira omulanga guno bayambe. Yasabye abakulembeze ba NUP ku mitendera gyonna okuvaayo nabo balabe nga lwakiri buli omu akomyaawo Munnayuganda omu.