Bannayuganda abali e S. Sudan bibasobedde .

Bannayuganda abali mu Sudan ey’amaserengeta basobeddwa eka ne mukibira olw’okulwanagana okuzzeemu okusitula enkundi ekireetedde obulamu bwabwe okubeera ku luwuzi era balaajanidde Gavumenti ya Yuganda ebanunule bave mu njega eno .

Kino kiddiridde okulwanagana wakati w’abajaasi ba Gavumenti n’abomumyuka wa Pulezidenti asooka Riek Machar .

Okulwanagana kuno okwabalukawo olwokuna lwa ssabbiiti ewedde mu kibuga Juba mu maserengeta ga Sudan mufiiriddemu abantu abasoba mu 250 nga abasinga obungi bajaasi okukkakkana nga emeera yeeyongedde okugagaga.

Radio Simba esobodde okwogerako n’abamu ku Bannayuganda abali mu bibuga eby’enjawulo mu ggwanga lino nebatutegeeza nti embeera gyebali ebasuza bakukunadde nga lumonde mu kikata nga obulamu bwabwe buli  matigga .

Jjuuko Geofrey akulira bannayuganda abagikakkalabiza mu kibuga BOR ekyesudde mile 120 okuva mu kibuga Juba agamba nti beeraliikirivu nti okulwanagana kuno kwandibatuukako .

Ate Khalisa George omu ku bannayuganda abagikakkalabiza mu Juba agamba nti kati beesibidde mu mayumba gaabwe nga n’ekyokulya tebakikubako kyamulubaale

 

Leave a Reply