Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem alagidde bannayuganda bonna abali emitala w’amayanja mu mawanga ag’enjawulo okwewandiisa ku bitebe bya Yuganda ebisangibwa mu mawanga gyebali , kibayamba nnyo mu biseera eby’obuzibu .
Nkumi na nkumi za Bannayuganda basaasaanidde mu mawanga ag’enjawulo omuli South Africa, amawanga ga Buwalabu, China, Bungereza , America n’awalala gyebaagenda okuwenjeza ekigulira amagala eddiba .
Oryem agamba nti newankubadde nga Gavumenti eri mu kaweefube w’okuggya bannayuganda mu Sudan ey’aserengeta olw’okulwagagana okuliyo, naye tebamanyi bulungi muwendo gwa bannayugada mutuufu guli mu ggwanga lino , ebifo byebalimu gattako n’emirimu gyebakola kubanga bangi ku bo eky’okwewandiisa ku kitebe kya Yuganda baakisuula muguluka .
Wabula okusinziira ku bubalo bya Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga ebya 2013 biraga nti bannayuganda abali mu Sudan ey’amaserengeta bali 20.000 , kyokka abeewandiisa ku kitebe kya Yuganda mu ggwanga lino bali 8000.