Bannayuganda baakuwa omusolo gwa bwesedde 15

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyensimbi wamu nokuteekerateera Ebyenfuna by’eggwanga Matia Kasaija,  eggulo ly’olwaleero asomye embalirira y’eggwaga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 nga eno yaakumalawo obwesedde bw’ensimbi za Yuganda 29 era ng’asabye Bannayuganda bonna okukyusa endowooza zaabwe batandike okulowooleza mu kukola. 
Mu mbalirira y’omwaka guno,  Minitule evunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula yeesinze okuweebwa omugabo omunene era nga eno etutte obwesedde bw’ensimbi buna mu obuwumbi lunaana. 
Yo Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebyenjigiriza etutte obwesedde bubiri mu obuwumbi bitaano so nga Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu yo eweereddwa akeesedde kamu mu obuwumbi lunaana. 
Ate Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulimi eweereddwa obuwumbi 846 n’ebitongole ebirala bingi ebiweereddwa ensimbi okusinziira ku nteekateeka nga bwebade. 
Minisita ono annyonnyodde nti ebitundu 75.5 ku kikumi by’embalirira eno ensimbi zigenda kuva wano mu ggwanga nga ziva mu musolo ogunaasoloozebwa w’ekitongole kya URA nga bano basuubirwa okusolooza obwesedde bwa  ssiringi za Yuganda 15.
Leave a Reply