Kitalo!
Bannayuganda babiri bakubiddwa amasasi agabatiddewo mu South Sudan nga kigambibwa ababasse bandiba nga bava mu ba Dinka.
Abatiddwa kuliko Willis Binsiima aka Herbs ne Charles Kule, nga ono abadde Ddereeva wa Land Cruiser nnamba SSD 912R y’essomero lya Hope and Resurrection Secondary School in Atiaba Western Lakes State. Bano babadde mu motoka n’Omukulu w’essomero Munnansi wa Sudan nga babadde boolekera Rumbek okukima mukama waabwe Anthony Mading.
Kigambibwa nti bano nga tebanakubibwa masasi, waliwo emotoka etategerekese nga yabaddeko ennamba ezitali za Sudan eyatomedde omwana omuwala Omudinka nemuttirawo e Tikic mu South Sudan ekyaleetedde Abadinka okusalako oluguudo nebatandika okunoonya emotoka eno erina ennamba engwira.
Bwebalabye Land Cruiser eno nga erimu Bannayuganda Abadinka ababadde babagalidde emigemerawala nebagiyimiriza nabalagira abagibaddemu okufuluma, wamu n’okubalaga ebitambuliiso byabwe. Olwakizudde nti kwabaddeko Bannayuganda babiri, babakubye amasasi agabatiddewo olwo ye Omukulu w’essomero Munnansi wa Sudan nebamuleka.
Emirambo gyatwaliddwa e Rumbek.