Weruyingiridde olunaku olwokutaano nga nnamungi w'omuntu yeyongera okweyiwa mu kisaawe e Namboole basobole okugemebwa ''YELLOW FEVER'' era nga enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ekitogole ekivunaanyizibwa ku kutereka eddagala mu ggwanga ekya National Medical Stores (NMS) .
Enteekateeka eno ey'okugema eyatandika mu mwezi gwa Museenene nga 28 egendererwamu okuyamba Bannayuganda abasoba mu mitwalo etaano ( 50.000) abo abatalina busobozi busasula mitwalo kkumi (100.000) ku malwaliro ga City Council ate n'amalala ag'obwannannyini
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde Minisitule evunaanyizibwa ku by'obulamu yazuula omusujja guno (Yellow Fever ) mu Disitulikiti omuli Masaka, Bukomansimbi , Rukungiri n'endala .