Bannayuganda basabiddwa okwekebeza kookolo

Ng’eggwanga lyattu Yuganda lyegasse ku mawanga amalala okukuza olunaku lwa Kookolo, olukuzibwa nga buli ennaku z’omwezi 04 omwezi gwa Mukutulansanja, lugenda kukuzibwa olunaku olw’enkya, era wano Minisitule y’ebyobulamu esabye bannayuganda okugendanga beekebeze ekirwadde ekya kookolo kubanga singa kizuulibwa nga bukyali ddala, kiba kisoboka okujjanjabibwa.

Bino byogeddwa Minisita avunaanyibwa ku byobulamu Dr. Ruth Aceng, n’agamba nti ebiseera ebisinga ekirwadde ekya Kookolo kiva ku bintu bingi ng’obutakola dduyiro , okukommonta sseggereeti, okwekatankira enguuli nnyingi, emmere gyetulya awamu n’ebirala bingi .

Minisita bino abitegeezezza olukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe kya Minisitule mu Kampala, n’agamba nti singa abantu beekebeza nga bukyali, ekirwadde kino kisobola okulinnyibwa ku nfeete.

Omukolo guno gugenda kuyindira ku ddwaliro ekkulu e Mulago webajjanjabira ekirwadde kino era nga gutambulira ku mulamwa ogugamba nti  Tusobola era Nsobola 

Leave a Reply