Bannayuganda baweze obukadde 45 mu emitwalo 90 – UBOS

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu Ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics – UBOS olwaleero kifulumizza ebyava mu kubala abantu nga Uganda kati eweza abantu obukadde 45 mu emitwalo 90 okuva ku bukadde 34 mu emitwalo 60 (2014). Okusinziira ku UBOS egamba nti kuba kweyongerako obukadde 11 mu emitwalo 30 mu myaka 10 egiyise.
UBOS eyongerako nti ku muwendo guno kuliko n’abanonyi bobubuddamu emitwalo 78 mu 61 nga bano basangibwa mu Uganda nebabalibwa mu kiro kyokubala abantu.
Executive Director wa UBOS Chris Mukiza ategeezezza nti buli muntu okumubala bamusaasanyizaako ddoola 1.9 bwozigeraageranya ku za Kenya zeyakozesa ddoola 2.1. “
Mukisa akakasizza nti ebyavuddemu bituufu era tebibuusibwabuusibwa. Ono ategeezezza nti basaba nnyo ku luno ekitongole ky’ensi yonna ekya United Nations tekiveeyo kulekaana nti bebalina ebituufu okisinga UBOS.
Leave a Reply