Bannayuganda mubeere bakkakamu tujja kubakwata – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Okuva ewa Ssaabalwanyi eri Abazzukulu ne Bannayuganda; nga tunoonya abatamanyangamba abaali bagezaako okukuba bbomu e Pader mukuziika Lokech, nabatulisizza bbomu e Komamboga omwafiriidde Munnayuganda omuto 1 n’abalala 3 nebalumizibwa, ekintu ekitali ky’amaanyi nnyo kibwatukidde mu bbaasi ebadde egenda e Ishaka nekitta omuntu omu n’omulala omu nabuuka n’ebisago. Abantu abalala 37 bavuddemu bulungi ne Ddereeva. Uganda Police Force etandise okunoonyereza oba ng’omuntu gwekubye yabadde asitudde bbomu eno oba nedda.
Ebyakafunibwawo ebitono biraga nti okubwatuka kubadde wansi w’entebe nekuttirawo omuntu abadde atudde ku mutto ogwo nabadde amutudde emabega. Omuyiggo gutandise kuba baleseewo obujulizi obutegeerekeka mubungi.”
Leave a Reply