Bannayuganda temulonda muvubuka ku bwa Pulezidenti – Norbert Mao

Akutte bendera ya Democratic Party Ugandaku kifo ky’obwa Pulezidenti Norbert Maoavuddeyo nasaba abantu b’omu Acholi obutalonda muvubuka atalina bumanyirivu kukulembera ggwanga ku kifo ky’obwa Pulezidenti.
Mao yabadde ayogerako eri abawagizi be e Pabbo ne Amuru mu Disitulikiti y’e Amuru. Mao atanokoddeyo muvubuka ki gwebaba batalonda yagambye nti kiba kyanaku Bannayuganda okulonda omuvubuka okukulembera Yuganda kuba Yuganda akaseera kerimu ketaaga omukulembeze omukulu nga alina n’obumanyirivu obumala okutereeza ebyonoonese.
Kirungi mubawulirize naye twetaaga tusooke tubatendeke bulungi bayige. Mao agamba nti National Resistance Movement – NRMenyisse nnyo eggwanga nga kyetaaga omuntu omukulu asobola okutambuza okukyuusa obuyinza obulungi nga alengerera wala.
Mao yategeezezza nti ye omuntu gwavuganya naye ye Pulezidenti

Yoweri Kaguta Museveni

era gwalubirira okusiguukulula nga 14 January. Mao agamba nti omusambi omulungi talumba atalina mupiira nti era alina kubeera kyakuyiga eri abavubuka basobole okwawula ekibi ku kirungi.

Leave a Reply